\v 11 Naawe n'onakuwala enkomerero yo ng'etuuse Ennyama yo n'omubiri gwo bwe birimalibwawo, \v 12 N'oyogera nti Nga nakyawanga okuyigirizibwa, Omutima gwange ne gunyoomanga okunenyezebwa;