lke_jer_text_reg/51/27.txt

1 line
371 B
Plaintext

\v 27 Musimbe ebbendera mu nsi, mufuuwe eikondeere mu mawanga, mutegeke amawanga okulwana nakyo, mwete obwakabaka obwa Alalati ne Mini ne Asukenaazi, okukikuŋaaniraku: mukigabire omugabe; muniinisye embalaasi ng'obuwuka obuliku obwoya. \v 28 Mutegeke amawanga okulwana nakyo, bakabaka b'Abameedi, abaamasaza baamu, n'abasigire bonabona abaamu, n'ensi yonayona gy'atwala.