\v 25 Mukama yakukubbanga mu maiso g'a balabe bo: wafulumanga okubatabaala mu ngira imu, era wairukanga mu mangira musanvu mu maiso gabwe: era wayiganyizibwanga eruuyi n'e ruuyi mu bwakabaka bwonabona obw'e nsi: \v 26 N'o mulambo gwo gwabbanga kyo kulya kye nyonyi gyonagyona egy'o mu ibbanga, era kye nsolo egy'o ku nsi, so tewaabbengawo aligiguĊ‹umula.